Ekika ky’Emmamba

(Temporary Website)

Ba Gabunga | Amasiga g’Emmamba | Amannya g’Emmamba | GandaAncestry.com

Oyanirizibwa ku mukutu gw’ekika ky’emmamba. 

Enno ntandikwa. Enteekateeka zaffe za kuzimba webu sayiti (website) ey’omulembe era n’okutekangako alipoot namutayiika omuli ebikwaata ku kika kyaffe. Omulimu guno gukulemberwa Omutaka Lube Nsubuga Mukedi III, nga awagirwa Jajja wafe Omutaka Yosiya Kasozi Gabunga wamu n’akakiiko akafuzi ak’emmamba. Okwo kwogatta ne muzukulu wa Gabunga Charles Galiwango Mukasa ne tiimu ye eya Infoma abawaddeyo ensimbi n’obudde okukutusaako omulimu guno.

Ebintu ebirala bingi ebikyasigaddeyo ebikwata ku kika kye Mmamba naddala ku nsibuko yaakyo, tujakubiwereza kubiteeka mpola ku mukutu guno okusinziira ku buyambi bwetufuna okuva mu bazukulu ba Gabunga awamu n’abaganda abalala abawagira obuwangwa bwa Buganda.

Twegatteko owagire bino wamanga:

1.      Okuzimba woofesi y’ekika esangibwa ku Nabunya Road okulirana Pope Paul Community Centre e Lubaga (ewali woofesi enkadde)..

2.      Okuzimba website y’ekika ky’Emmamba eyomutindo.

3.      Tiimu z’okubaka (abawala) n’okusamba (abalenzi) omupiira abenyigira mu mpaka z’ebika by Baganda bli mwaaka.

4.      Enkiiko z’ekika kye Mmamba zituula buli lwa Ssande olusooka mu mwezi, mu mwaka gwona, e Kabowa ewa Gabunga.

Okumanya wa gy'oyinza okuwereza obuyambi tukirira:

mmamba@infoma.com

frednsubuga@yahoo.co.uk.

Ssabasajja Kabaka awangaale ne Nnabagereka agerekere Obuganda, Ssangalyambogo Mailo akenda zitudizibwe afune wazanyira

OLUKIIKO OLUFUZI OLW’EMMAMBA

1.      Ssentebe ow’ ennonno   Omutaka Yosiya Kasozi Gabunga

2.      Kattikiro w’ekika ye  Mutaka Wycliff Luyombo

3.      Omuwandiisi w’ekyaama ye Mwami Charles Kyoloobi

4.      Omuwandiisi w’ekika Omutaka Kabiswa Musoke

5.      Omukulu wa b'amasiga ye Mutaka Kiyaga Ssemubiru

6.      Omuwanika w’ekika ye Omwami David Bbuye

7.      Dr. Kimala   ye mumyuka w'omuwanika

8.      Omutaka Kawolobe akola nga Mulondo (Gabunga mwava)

9.      Peter Luutu w'akakiko akalondoozi

10.  Dick Nsubuga  - Mmemba

11.  Omutaka Yakoobo Kinaalwa Mubaka wa Gabunga ku Kakiiko ako.

12.  Omwami Ssegemebe Bagamba Munyolo  - Mmemba

13.  Omukyala Alice Ndagire oyo w ’abakyala

14.  Omwami Mulindwa wa bavubuka

15.  Omukyala Namutebi wa bawala.

16.  Omutaka Lube Nsubuga Mukedi III Muwanika/ Ssentebe w'akakiiko akazimbi.

Ba Gabunga | Amasiga g’Emmamba | Amannya g’Emmamba | GandaAncestry.com