ABAAKALYA OBWA GABUNGA BE BANO
1. Mubiru Gabunga omuberyeberye ye yazaala ekika ky’emmamba yonna mu
2. Ssematimba ye mwanawe eyamusikira oyo ye Gabunga eyakuba embuga ye e Jjungo Buwaya mu Busiro. Omwo mwemuli embuga ya Gabunga eyasooka. Ssematimba bweyafa yagibwako akaba ne bakatereka e Jungo omulambo gwe ne guziikibwa e Ssagala ku Butaka e Buwaya mu Busiro.
3. Nsaja omwana wa Ssematimba n'amusikira nabeera Gabunga, oyo bweyafa yagyibwako akaba nekaterekebwa, e Jungo omulambogwe ne guzzibwa e Ssagala ku Butaka.
4. Mbizzi omwana wa Nsanja n'amusikira nabeera Gabunga oyo bweyafa yagibwako akaba nekaterekebwa e Jungo omulambogwe ne guzikibwa e Sagala ku Butaka
5. Kijjambu Mugemu omwana wa Mbizzi n'amusikira nabeera Gabunga, oyo bweyafa yagibwako akaba (oluwanga) neruterekebwa e Jungo omulambo gwe ne guzikiibwa e Ssagala ku Butaka.
6. Ssematimba II omwana wa Mbizzi n'amusikira nabeera Gabunga, oyo bweyafa yagibwako oluwanga ne luterekebwa e Juungo omulambogwe ne guzikiibwa e Ssagala ku Butaka.
7. Zibukuyiimbwa omwana wa Ssematimba II n'amusikira nabeera Gabunga ku Kabaka Nakibinge, oyo bweyafa yagibwako oluwanga ne luterekebwa e Jungo omulambogwe neguzikiikibwa e Ssagala ku Butaka.
8. Kasozi Omwana wa Zibukuyiimbwa n'amusikira nabeera Gabunga, oyo bwe yafa yagibwako oluwanga neluterekebwa e Jungo omulambogwe neguzikiikibwa e Ssagala ku Butaka. Kabaka yamuwa nembazzi ye Nakangu eyekikomo ekyerere okubanjanga amaato aga Kabaka.
9. Museegu omwana wa Kasozi n'amusikira nabeera Gabunga, oyo bweyafa yagibwako oluwanga ne luterekebwa e Jungo omulambo ne guzikibwa e Ssagala ku Butaka.
10. Omwana we era naye ayitibwa Museegu n'amusikira nabeera Gabunga, oyo bweyafa yagibwako oluwanga ne luterekebwa e Jungo omulambo gwe ne guzikibwa e Ssagala ku Butaka.
11. Ndiwalana omulongo, omwana wa Ssenkoyo n'amusikira nabeera Gabunga, oyo bweyafa yagibwako oluwanga ne luterekebwa e Jungo omulambo gwe ne guzikibwa e Ssagala ku Butaka.
12. Mbizzi omwana wa Ndiwala omulongo n'amusikira nabeera Gabunga, oyo bweyafa yagibwako oluwanga ne luterekebwa e Jungo omulambo gwe ne guzikibwa e Ssagala ku Butaka.
13. Ssembwa omwana wa Mbizzi II n'amusikira nabeera Gabunga, oyo bweyafa yagibwako oluwanga ne luterekebwa e Jungo omulambo gwe ne guzikibwa e Ssagala ku Butaka.
14. Mubiru II omwana wa Ssembwa n'amusikira nabeera Gabunga, oyo bweyafa yagibwako oluwanga ne luterekebwa e Jungo omulambo gwe ne guzikibwa e Ssagala ku Butaka.
15. Mbizzi III omwana wa Mubiru II n'amusikira nabeera Gabunga, oyo bweyafa yagibwako oluwanga ne luterekebwa e Jungo omulambo gwe ne guzikibwa e Ssagala ku Butaka.
16. Luyima omwana wa Mbizzi III n'amusikira nabeera Gabunga, oyo bweyafa yagibwako oluwanga ne luterekebwa e Jjungo omulambo gwe ne guzikibwa e Ssagala ku Butaka.
17. Wassaago omwana wa Luyima n'amusikira nabeera Gabunga, oyo bweyafa yagibwako oluwanga ne luterekebwa e Jjungo omulambo gwe ne guzikibwa e Ssagala ku Butaka.
18. Luyima omwana wa Wassaago n'amusikira nabeera Gabunga, oyo bweyafa yagibwako oluwanga ne luterekebwa e Jjungo omulambo gwe ne guzikibwa e Ssagala ku Butaka.
19. Kiyegga Bidandi omwana wa Luyima II n'amusikira nabeera Gabunga, oyo bweyafa yagibwako oluwanga ne luterekebwa e Jjungo omulambo gwe ne guzikibwa e Ssagala ku Butaka[1].
20. Mubiru III Nkondeebuguma omwana wa Kiyegga Bidandi, n'amusikira nabeera Gabunga oyo bweyafa yagibwako oluwanga ne luterekebwa e Jjungo omulambo gwe ne guzikibwa e Ssagala ku Butaka.
21. Mirundi ow’ekika naalya obwa Gabunga ku Kabaka Ssemakookiro oyo bweyafa teyagibwako Luwanga, omulambogwe ne guzikiibwa e Ssagala ku Butaka.
22. Luyima III omwana wa Kiyegga Bidandi ye yamusikira nabeeera Gabunga ku Kabaka Ssemakookiro okutuka ku Kabaka Ssuuna II, oyo bweyafa yazikiibwa Ssagala ku Butaka.
23. Ssempiri Sserwanga yasikira mugandawe Luyima III nabeera Gabunga ku mulembe Kabaka Ssuuna II eyamutta. Ssempiri Sserwanga Gabunga teyaziikibwa Ssagala ku Butaka kubanga Kabaka gwatta tazikiibwa ku Butaka.
24. Twalirana owekika naalya obwa Gabunga ku Kabaka Ssuuna II (nga tasikidde Ssempiri Serwanga Gabunga) oyo bweyafa yazikibwa e Ssagala ku Butaka.
25. Nyanga yasikira mugandawe Ssempiri Serwanga Gabunga nabeera Gabunga ku Kabaka Ssuuna II oyo yattirwa ku lutalo e Busoga ngatabadde omulambo gwe tegwaletebwa ku Butaka Ssagala kubanga yafiira ku lutalo. Galiwango Kaaya omwana wa Ssempiri Sserwanga Gabunga n'amusikira naye teyalya bwa Gabunga ku mulundi ogwo.
26. Musembwa owekika naalya obwa Gabunga ku Kabaka Mukaabya Muteesa I (nga tasikidde Nyanga Gabunga) oyo bweyafa yazikibwa Ssagala ku Butaka.
27. Galiwango Kaaya Omwana wa Ssempiri Sserwanga Gabunga yasikira kitaawe omuto Nyanga eyattirwa e Busonga kulutalo, naalya obwa Gabunga ku Kabaka Mukaabya Muteesa I. Kabaka yamuwa n’embazzi ye nankunga eyekikomo ekyerere okubajanga amaato. Era Kabaka yamuwa obuyinza okuwoozanga Abawalabu abajjanga mu
28. Isaaya Kijambu II yasikira kitaawe Galiwango Gabunga mu Mwaka 1881 ku Kabaka Mukaabya Muteesa I, oyo yabeera Gabunga okutusa ku Kabaka Mwanga II era yaberako neku Kabaka Kiweewa. Yattirwa mu lutalo e Mmengo mu 1881, Kiweewa ngali n’Abasiraamu ngabagoba Abaprotestanti, bweyattibwa yazikibwa e Ssagala ku Butaka mu nyumba omwazikibwa Kitaawe Galiwango Kaaya Gabunga.
29. Miiro Serugooti owekika mu Ssiga lya Mmiiro naalya obwa Gabunga ku Kabaka Kiweewa mu mwaka 1881 (nga tasikidde Isaaya Kijjambu II Gabunga). Oyo naye yattirwa mu lutalo lw’amadiini nga ali ludda lw’Abakulisitaayo olw’Abasiraamu.
30. Ssematimba III owekika mu Ssiga lya Wampona naye naalya obwa Gabunga ku Kabaka Kalemera (nga tasikidde Miiro Serugooti Gabunga). Naye naye yattirwa mu lutalo lw’amadiini ng’ali kuluyi lw’Abasiraamu.
31. Ssendikwanawa ow’ekika mu Ssiga lya Mugula Entebe naye nalya obwa Gabunga ku Kabaka Kalemeera (nga tasikidde Ssematimba III Gabunga). Yattirwa mu lutalo lw’amadiini ng’ali luuyi lw’Abasiraamu, nazikiibwa e Ssagala ku Butaka.
32. Yosia Kasozi II Kkweeba, yasikira Muganda we Isaaya Kijambu II Gabunga eyattirwa mu lutalo lw’amadiini ng’ali ludda lw’Abakulisitayo e Mmengo, kitaabwe Galiwango Kaaya Gabunga bwabazaala. Yasika ku Kabaka Mwanga II Bassammula ngazibbwa okufuga
33. Alikizanda Ndiwalana II muganda wa Yosiya Kasozi II Gabunga Kkweeba, kitaabwe Galiwango Kaaya Gabunga bwabazaala ne Isaaya Kijjambu II Gabunga yalya obwa Gabunga ku Kabaka Daudi Chwa II mu mwaka 1920. Kabaka Daudi Chwa yamuwa e Gombolola ya Ssabawaali mu Busiro nabeera owe Ggombolola n’okubeera omukulu w’ekika kye Mmamba. Ono yeyakyusa embuga ye Mmamba okugigya e Jjungo nagizza e Ssagala. Bweyafa omwana we Susan Kasozi n'amusikira naye teyalya Bwa Gabunga.
34. Kaaya Zeddekiya Kijjambu III, mutabani wa Yosia Kasozi II Gabunga Kkweeba ng'amaze okukula yalya obwa Gabunga nga bumuwebwa Kabaka Daudi Chwa II.
35. Ssenyonyi Galiwango II n'asikira mutoowe Kaaya Zeddekiya Kijjambu III Gabunga eyafa mu 1948, kitaabwe Yosiya Kasozi bw'abazaala. Yalya obwa Gabunga ku Kabaka Muteesa II.
36. Yosiya Kasozi III n'asikira kitaawe Ssenyonyi Galiwango II. Obwa Gabunga Yabulya Mu Mwaka 1959 Ku Kabaka Muteesa II. Nakati yakyaali ku bwa Gabunga era ye Gabunga omukulu w’ekika kye Mmamba mu bwa Kabaka bwa
[1] Kiyegga Bidandi Gabunga yalina abaana bana abalya obwa Gabunga: Mubiru III, Luyima III Gabunga, Ssempiri Sserwanga Gabuunga ne Nyanga Gabunga.